- Forgiveness

Okusonyiyibwa

Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe. - Matayo Matthew 6:14, 15

Awo Yesu n'agamba nti Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola. Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. Lukka Luke 23:34

Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri. - Yokaana John 8:11

Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.- Isaaya Isaiah 43:25

Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa. - Matayo Matthew 5:7 Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate. - Abaebbulaniya Hebrews 8:12

Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka, okutuusa emirundi musanvu? Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu. - Matayo Matthew 18:21, 22

Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. - 1 John 1:9

Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe: - Zabbuli Psalms 103:12

Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama. - Leviticus 19:18

Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira; - Zabbuli Psalms 18:25

Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola. - Zabbuli Psalms 86:5

Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.- Engero Proverbs 3:3, 4

Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we. - Matayo Matthew 18:35

Awo bwe munaayimiranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe. - Makko Mark 11:25

Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: - Lukka Luke 6:37 era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo. - Abaefeeso Ephesians 4:32

nga milzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: - Abakkolosaayi Colossians 3:13

nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi; - Abaebbulaniya Hebrews 12:15

Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe. - Matayo Matthew 6:14, 15

Awo Yesu n'agamba nti Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola. Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. Lukka Luke 23:34

Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri. - Yokaana John 8:11 Nze, nze mwene, nze nzuuyo sangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.- Isaaya Isaiah 43:25

Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa. - Matayo Matthew 5:7 Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate. - Abaebbulaniya Hebrews 8:12

Awo Peetero n'ajja, n'amu gamba nti Mukama wange, mugand wange bw'annyonoonanga, nnaa musonyiwanga emirundi emeka kutuusa emirundi musanvu?Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi mumvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu. - Matayo Matthew 18:21, 22

Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. - 1 John 1:9 Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe: - Zabbuli Psalms 103:12

Towalanangaggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama. - Leviticus 19:18

Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira; - Zabbuli Psalms 18:25

Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola. - Zabbuli Psalms 86:5

Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.- Engero Proverbs 3:3, 4

Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe muta, onyiwa mu mitima.gyammwe buli nuntu muganda we. Obufumbo n'okwawukana - Matayo Matthew 18:35

Awo bwe munaayimiranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe. - Makko Mark 11:25

Era temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa: - Lukka Luke 6:37

era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo. - Abaefeeso Ephesians 4:32

nga milzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muatu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era natnmwe bwe muryo: - Abakkolosaayi Colossians 3:13

nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna awee buuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi; - Abaebbulaniya Hebrews 12:15