Does God exist?



Katonda Gyaali? Waliwo Bukakafu ki obulaga nti Katonda gyaali?

Okubaawo kwa Katonda tekusoboka kukkasibwa oba obutakakkasibwa. Bayibuli egamba nti tulina kukiriza bukiriza nti Katonda gyaali: "Era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: Kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abunoonya" (Abaebbulaniya 11:6) Singa Katonda ayagala nnyo, yandibadde agya buzi nakakasa ensi yonna nti gyaali. Naye bw'akola ekyo, kiba tekyetagisa kukiriza. "Yesu na'mugamba nti,'kubanga ondabye, okkiriza; balina omukisa abkiriza nga tebaliiko kyebalabye" (yokana 20:29)

Ekyo tekitegezza nti teli bukakkafu nti Katonda gyaali. Bayibuli egamba nti "Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye. Omusana gugamba ebigambo omusan, N'ekirokiraga amagezi ekiro. Siwali bigambo newankubadde olulimi,; eddoboozi lyabyoteriwulikika. Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi.( Zabuli 19:1-4)

Bw'otunulira emunyenye, okutegeera obunene bw'ensi, okwetegerezza ebya'magero by'ensi, okulaba obulungi bw'enjuba ng'egwa- ebunti bino byona bilaga Katonda. Singa bino byaali tebimala, waliwo n'obukakafu nti Katonda ali mumititma gyaffe. Omuburizi 3:11 etugamba nti,"….era yateeka ensi mu mitima gyaabwe." Munda muffe waliwo okulaba nti waliwo ekintu ekili waggulu w'obulamu buno n'omuntu asingako ensi eno. Amegezi gano tusobola ogegaana mu by'amagezi naye kubeerawo kwa Katonda muffe n'okutwetoloola kalabikirawo. Wadde nga kili bwekityo, bayibuli etulabula nti abantu abamu bagya kwegaana okubeerawa kwa Katonda: "Omusirusiru ayogedde mumutima gwe nti ,'siwali Katonda'"(Zabuli 14:1).

Olw'okuba nti abantu bangi mubyafaayo, eby'obuwangwa byona, munkulakulana zona ne mumawanga gona bakiriza nti waliyo Katonda ow'engeri emu oba endaala, kino kitegeeza nti waliyo ekintu (oba omuntu) aletawa enzikiza eno.

Okuggatako kubyawandikibwa mu bayibuli ku kuberawo kwa Katonda, waliyo ebintu ebirala ebitegerekeka obutegerekesi. Ekisokerwaako, waliyo .kitandika okwogera ku Katonda nga "omuntu asiinga byonna nga ate tewliiyo anyinza kumusinga. Nebongerako nti okubaawo kisinga obutabaawo, n'olwekyo, omuntu asinga bonna alina okubeerayo. Singa Katonda teyariiyo, kyandibadde kitegeeza nti omuntu asiinga bonna taliiyo ekyandibadde kikontana n'okunyonyolwa kwa Katonda ye ani.

Ekyokunyonyola ekyokubiri. Egamba nti olwokubanga ensi elabika bulungi nnyo, kitegeza nti waliiyo eyagikola owamaanyi agatali ga ku nsi kunno. Eky'okulabirako, singa ensi yali nga eli nga ebikum bya mailo ebitonotono kumpi n'enjuba, yandibadde tesobola kubeesaawo obulamu kati bebeesaawo. Singa ebintu ebikola ensi byaali bikola obutundutundu abutonotono ku buli kikumi obw'enjawulo, kumpi buuli kintu ekiramu ku nsi kyandifudde. Akasika ka akatundu akatono aka protein okukkolebwa kali kamu(1) mu 10243( ekitegeeza 10 oyongereko noti 234). Akkkanusi akamu kalimu bukadde na bukadde obwa obutundutundu bwa protein.

Okunyonyola okw'okusatu okulaga nti Katonda gyaali kuyitibwa. Buli kiggwawo kilina okubeerako ekikireta. Ensi eno nabuli kimu kirina kyekiretawo. Walina okubeerayo enkintu ekiretera buli kimu okubaawo. Mu byona, walina okubeerayo ekintu ekitaletebwa kintu kyona okusobola okubeesaawo ebintu ebirala byona. Ekyo ekiateretebwa ekiretera ebintu ebirala byona okubeeraawo ye Katonda.

Ekyokunyonyola eky'okusatu kikwatagana ne eb'empisa enungi. Buli kyabuwangwa mubyaffayo kirina ebyamateeka eby'engeri emu. Buli muntu asoboola okusalawo ekituufu n'ekikyaamu. Obutemu, obulimba, obubbi, n'obuseegu tebikirizibwa kumpi mu nsi yona. Okusoboola okusalawo ekituufu n'ekikyaamu kyavawa bwe kibeera nga tekyava wa Kadonda omutukuvu?

Newanukubadde nga byona biri bwebityo, Bayibuli etugamba nti baligaana okukiriza ekobubeerayo kwa Katonda Okutabisibwabusiba nebakiririza mu by'obulimba. Abaruumi 1:25 eyogera nti "Kubanga amazima ga Katonda baagagwanyisaamu obulimab,ne basinzanga nebaweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina. Bayibuli era egamba nti abantu tebalina kya kwekwaasa obutakiririza mu Mutonzi." Kubanga bibye ebitalabikaokuva ku kutonda esni birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe, babeere nga tebalina kya kuwoza".( Abaruumi 1:20)

Abantu beekwaasa okugaana okubeerawo kwa Katonda mbu kubanga si kya 'sayansi' oba 'kubanga tewali bukakafu'. Ensoonga entuufu eri nti bwebakiriza nti Katonda gyaali, balina okukiraba nti Kantonda abalinako obuyinza era nti beetaaga okusonyiyibwa okuva gyaali( Abaruumi 3:23, 6:23). Singa Katonga gyaali, kiba ketegeeza nti buli kyetukola,tulina okwenyonyolako gyaali. Katonda bwaba nga taliiyo, kitegeza nti tusobola okukola kyona kyetwagala nga tetulina bwelalikirivu nti agenda kutusalira omusango. Eyo y'ensoonga lwaaki bangi muffe beegaana okuberawo kwa Katonda nebesiba ku kigambibwa nti tulina ebintu byetwavaamu netujja nga tufuukafuuka- ekyo kibawa ensonga enaddal ey'okiririza mu Katonda Omutonzi. Katonda gyaali era ekikuli kya byona kiri nti buli omu akimanyi nti gyaali. Ekituufu kya byona kiri nti okugezaako n'amanyi okukakasa nti taaliyo mazima ddala kikakasa nti gyaaali.

Tumanyi tutya nti Katonda gyaali? Nga Abakurisitaayo, tukimanyi nti Katonda gyaali kubanga tumwogereko buli lunaku. Tetumuwulira nga ayogera naye tumuwulira nti waali, tuwulira okutukulembera kwe, tumanyi okwagala kwe, tuyayanira ekisa kye. Ebitnu bingi bibaddewo mu bulamu bwaffe byetutasobola kunyonyola okujjako Katonda. Katonda, mu ngeri eyekyamagero atununudde naakyusa obulamu bwaffe tetusoboola kukyebeera okujjako okukiriza ekyo ekirabikirawo. Munkmerero, okubeerawo kwa Katonda kulina okukirizibwa n'okukkiriza.(Abebulaniya 11:6) . Okukiririza mu Katonda kiringa okubuuka mu nzikiza ng'ozibiridde; Sikyabulabe okuyingira mu kisenge ekirimu ekitangaala ekirungi nga ate mulimu abantu abayimiriddemu.



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE