- Growth [Spiritual]
Okukula [Okw'omwoyo]Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.Yobu Job 23:10 Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.- Engero Proverbs 3:12 Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba.- Yeremiya Jeremiah 18:4 Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mwe nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.- Ezekyeri Ezekiel 22:14 Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi:- Matayo Matthew 7:24 So tebafuka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana: naye, bafuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.- Matayo Matthew 9:17 naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.- Lukka Luke 12:48 Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano:naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.- Lukka Luke 22:31, 32 Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.- Yokaana John 3:30 Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi.- Yokaana John 12:24 Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala.- Yokaana John 15:2 Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.- Yokaana John 15:4 so temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.- Abaruumi Romans 6:13 Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.- Abaruumi Romans 12:1, 2 Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe;- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 4:16, 17 Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza1 Abakkolinso17 1 Corinthians10:1317 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 10:3, 4 N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 12:9, 10 nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo:- Abafiripi Philippians 1:6 Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi.- 1 Timoseewo 1 Timothy 6:12 Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu.- 2 Timoseewo 2 Timothy 2:3 Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu;nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.- Yakobo James 1:2, 3 Kale mujeemulukukirenga katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.- Yakobo James 4:7 Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:- 1 Peetero 1 Peter 1:6, 7 Abaagalwa, temwewuunyaaga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo:naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.- 1 Peetero 1 Peter 4:12, 13 Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.- Zabbuli Psalms 40:3 Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.- Ezekyeri Ezekiel 36:26 Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.- Abaruumi Romans 6:4 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 5:17 era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe, okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.- Abaefeeso Ephesians 4:23, 24 Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.- Abafiripi Philippians 3:13, 14 |