- Guidance

Okuluŋŋamizibwa

Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:- Engero Proverbs 27:23

Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.- Ezekyeri Ezekiel 34:11

Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 3:6, 7

Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 3:10

Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 9:11

Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 9:6

Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.- 2 Timoseewo 2 Timothy 2:2

mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;- 1 Peetero 1 Peter 5:2