- Happiness
EssanyuNaye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.- Zabbuli Psalms 5:11 Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe.- Zabbuli Psalms 16:11 Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.- Zabbuli Psalms 30:5 Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.- Zabbuli Psalms 126:5 Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge. Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.- Zabbuli Psalms 128:1, 2 n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe: balifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliddukira ddala.- Isaaya Isaiah 35:10 Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mumwe, era essanyu lyammwe lituukirire.- Yokaana John 15:11 kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu:- Abaruumi Romans 14:17 |