Jesus as personal Savior
Kitegeeza ki okukkiriza Yesu ng'Omulokozi wo?Wakkiriza Yesu ng'Omulokozi wo? Okutegeera ensonga eno bulungi, olina okusooka okutegeera ebigambo "Yesu Kristu", "owuwo", "omulokozi". Yesu Kristu Yaani? Abantu abamu bakkiriza Yesu okuba omuntu omulungi, omusomesa owamanyi, oba nnabbi wa Katonda. Bino bintu bikulu ku Yesu, naye sibyebyokka ebitegeeza ddala ki kyali. Bayibuli etugamba nti Yesu Katonda ayambadde omubiri, Katonda ali mu kikula ky'omuntu.(Laba Yokaana 1:1,14) Katonda Yaggya kunsi okutuwoonya, okutusonyiwa, n'okutufiirira. Yesu Kristu Katonda, Omutonzi, Kamala byonna. Wakkiriza yesu ono? Omulokozi Kyekki? Era lwaki twetaaga omulokozi? Bayibuli etugamba nti fenna twayonona; tukoze bikolwa ebibi( Abaruumi 3:10-18) Olw'ensonga eyo y'okwonona kwaffe, tusaanira busungu bwa Katonda n'omusango. Ekibonerezo kyoka kyetugwana kya lubeerera oba mirembe gyonna olw'okwonoona eri Katonda aberera emirembe gyonna.( Abaruumi 6:23; Okubukkulirwa 20:11-15). Y'ensonga lwaki twetaaga omulookozi. Yesu yajja kunsi naffa mu kifo kyaffe. Okuffa kwa Yesu gwe mutango ogutakoma ogw'ebibi byafe. (2 Bakolinso 5:21). Yesu Yaffa okusasula omutango ogw'ebibi byafe. Yesu yasasula omuwendo ffe tuleme kusasula. Okuzuukira kwa Yesu okuva mu Baffu kwalaga nti okufa kwe kwali kumala okusasula omutango ogw'ebibi byaffe. Y'ensonga lwaki Yesu yyekka ye Mulokozi. Yesu Mulokoziiwo? Abantu abamu balaba Obulokole ng'okugenda ku Kyaaki, okutuukiiriza obulombolombo obumu era/oba nobutakola bibi ebimu. Obwo ssi bwebulokole. Obulokole obutuufu kwekuba n'enkolagana gwe ng'omuntu, ne Yesu. Okukkiriza Yesu ng'omulokozi wwo kitegeeza kuteeka kukiriza kwo n'obwesigge bwo mu yye.Teri alokoka olwokukkiriza kwa balala. Tewali asonyiyibwa olwokukola kino oba kiri. Engeri emu yokka gyetulokoka kwekukkiriza Yesu okubeera Omulokozi, nga tukkiririza mu kuffa ng'omutango ogw'ebibi byaffe , n'okuzuukira kwe ng'ekitunyweeza era okutukakassa obulamu obutaggwawo.(Yokaana 3:16). Yesu Mulokoziiwo? Bwoba ng'oyagala kukkiriza Yesu Kristu ng'Omulokozi wo ofune okusonyiyibwa okuva eri Katonda, Osobola okusaba esaala eno. Jjukira , okusaba esaala eno oba esaala endala yonna, tesobola ku kulokola. Kuteeka Kukkiriza mu Krsitu kwoka, kwekusobola okukulokola okuva mu kibi. Eno essala mubimpimpi ngeri yakwoleesa kukkiririza kwo mu Katonda, no okumwebaza olw'obulokozi." Katonda, nkimanyi nga nyononye gwe era nga nsaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristu yatwala ekibonerezo ekyo kyensaana nsobore okusonyiyibwa okuyita mu kukiriza mu yye. Nteeka okukkiriza mu ggwe kulw'obulokozi. Webale olw'ekisakyo ekirungi, nokusonyiyibwa – ekirabo eky'obulamu obutaggwawo. Amiina!" |