- Resting in the Lord

Okuwummula

N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula. Okuva Exodus 33:14

nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda. 1 Samwiri 1 Samuel 9:27

Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa. 2 Ebyomumirembe 2 Chronicles 14:7

N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera) Zabbuli Psalms 3:4

Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama. Zabbuli Psalms 27:14

Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi. Zabbuli Psalms 37:7

Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange. Zabbuli Psalms 40:1

Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi. Zabbuli Psalms 46:10

Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna. Zabbuli Psalms 55:22

Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: Katonda kye kiddukiro gye tuli. (seera) Zabbuli Psalms 62:8

Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe. Isaaya Isaiah 26:3

Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala. Isaaya Isaiah 30:15

N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta okutereera n'okwesiganga ennaku zonna. Isaaya Isaiah 32:17

naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika. Isaaya Isaiah 40:31

Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye. Yeremiya 17:7

Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey'oluvannyuma. Yeremiya Jeremiah 29:11

Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde. Okukungubaga 3:25, 26

Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu. Matayo 11:28-30

N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu. Abafiripi Philippians 4:7

Era kyenva mbonaabona bwe ntyo: naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli. 2 Timoseewo 2 Timothy 1:12

nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe. 1 Peetero 1 Peter 5:7