Our Salvation
Obulokozi BwaffeKubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. - Yokaana John 3:16 kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; - Abaruumi 3:23 Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo πkya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe. - Abaruumi Romans 6:23 Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze. - Yokaana John 14:6 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: - Yokaana John 1:12 Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. - Yokaana John 3:3 Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa. - Abaebbulaniya Hebrews 9:22 n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. - Matayo Matthew 18:3 Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. - Okubikkulirwa Revelation 3:20 Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. - 1 Yokaana John 1:9 kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka: kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.... kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka. - Abaruumi Romans 10:9, 10, 13 kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. - Abaefeeso Ephesians 2:8, 9 n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu, - Tito Titus 3:5 Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo. - Ebikolwa Acts 16:31 Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. - Yokaana John 3:36 nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. - Yokaana John 10:28 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya. - 2 Abakkolinso 2 Corinthians 5:17 |