- Supply

Obugabirizi

Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi. - 1 Timothy 6:10

Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. - Matayo Matthew 6:33

Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna. Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya. - Malaki Malachi 3:8-10

Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu. - Abafiripi Philippians 4:19

Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere. - Zabbuli Psalms 37:25

Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye. - 1 John 5:14, 15

Mukama ye musumba wange; seetaagenga: - Zabbuli Psalms 23:1

Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna. - Zabbuli Psalms 34:10

Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera) - Zabbuli Psalms 68:19

Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza. - Zabbuli Psalms 81:10

Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. - Zabbuli Psalms 84:11

Amaaso g'ebintu byonaa gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.Oyanjuluza engalo zo, N'okkusa buli kintu kiramu bye kyagala. - Zabbuli Psalms 145:15, 16

Omutuukirivu alya, emmeeme ye n'ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala. - Engero Proverbs 13:25

Bwe munaagondanga nemuwulira; munaalyanga ebirungi eby'ensi:naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. - Isaaya Isaiah1:19, 20

Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa. - Ezekyeri Ezekiel 34:26

Kale, temufaanana nga bo: kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.- Matayo Matthew 6:8

Musabe muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo;kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo. - Matayo Matthew7:7, 8

Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba? - Matayo Matthew 7:11

Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga - Matayo Matthew 21:22

N'abagamba nti Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga? Ne bagamba nti Nedda. - Lukka Luke 22:35

Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuuiira enjiri baliisibwenga olw'enjiri. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 9:14

era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. - 1 Yokaana 1John 3:22