Got Eternal Life?



Olina Obulamu Obutaggwaawo?

Edidwamu: Bayibuli eragga mubulongolokofu ekkubo eritutwala mu bulamu obutaggwaawo. Ekikyokusooka, tulina okukiraba nti twonoonye eri Katonda. "Kubanga bonna baayonoona, nebataruuka ku kitiibwa kya Katonda." (Baruumi 3:23). Ffena tukoze ebintu ebitasanyusa Katonda, ebitufuula okugwanira okuweebwa ekibonerezo. Olwensonga nti ebyonoono byaffe tebisanyusa Katonda, ekibonerezo ekyoluberera kyekitugwanira. "Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutggwaawo mu Kristo Yesu mukama waffe" (Abaruumi 6:23)

Wabula, Yesu Kristo, omwaana wa Katonda omulamu, atalina kibi (1 Petero 2:22) yafuuka omuntu (Yokaana 1:1, 14) era yaffa okusasulira ebanjja lyaffe. "Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwetwaali nga tukyalina ebibi, Kristo n'atufiririra." (Abaruumi 5:8) Kristo Yesu yaffa kumusalaba (Yokaana 19:31-42), n'atwaala ekibonerezo kyetwaali tuggwanidde (2 Abakolinso 5:21). Oluvanyuma lw'enaku satu, n'azukira mubafu (1 Abakolinso 15:14) n'akakasa obuwanguzi bwe eri okufa. "Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu." (1 Peetero 1:3)

Nga tukiriza, tulina okukyusa endowooza yaffe ekwatagana ku Yesu Kristo- Ki kyaali, byeyakola n'ensonga lwaki yabikola- olwokulokolebwa. (Ebikolwa by'abatume 3:19). Bwetumukiriza, nga twesiga okufa kwe ku musalaba okusasulira ebibi byaffe, tunasonyiyibwa ebibi byaffe netufuna ekisubizo ky'obulamu obutaggwaawomu ggulu "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme.okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo."(Yokaana 3:16). "Kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka" (Abaruumi 10:9): Okukkiriza kwoka mu mulimu ogwakolebwa negumalirizibwa Yesu Kristo kumusalaaba ly'ekkubo lyoka etuufu okufuna obulamu obutaggwaawo! "Kubanga mwaalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwaava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga" ( Abaefeeso 2:8-9)

Bwoba ng'oyagala okukkiriza Yesu Kristo ng'omulokozi wo, esaala enyangu yiino. Kinajukirwa nti, okusaba esaala eno oba esaala endala yonna tekiyinza kukununula. Okwesiga Yesu Kristo y'engeri yokka gyoyinza okusonyiyibwaamu ebibi. Esaala eno y'engeri enyangu ey'kulaga obwesigawa bwo eri Katonda n'okumwebaaza okukuwa obununuzi. "Katonda, nkimanyi nti nyononye gyooli era ngwanira kubonerezebwa. Naye Yesu Kristo yatwaala ekibonerezo kyenalingwanira, nti mukumukiriza nsobole okusonyiyibwa. Nteeka obwesigwa bwange mu gwe olwokununuribwa. Webaale nnyo elwekisa kyo ekiingi n'okunsonyiwa- ekirabo ky'obulamu obutaggwaawo! Amiina!"

Osazewo okukiriza mu Kristo okusinzira kubyosomye wano?



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE