Got Forgiveness?



Ofunye okusonyiyibwa? Nyinza ntya okufuna okusonyiyibwa okuva eri Katonda?

bikolwa by'abatume 13; 38 egamba nti, "Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa gye muli."

Okusinyiyibwa kye ki era lwaaki netaaga okusonyiyibwa? Ekigambo 'kusonyiwa' kitegeeza okusangulawo, okuddibwaamu, okusonyiyibwa, okusazaamu ebanja. Bw'okosa omuntu, tusaba ekisonyiwo okuva gyaali okusobozesa enkolagana okuddawo. Okusonyiyibwa si kyateeka nti bwosonyiyibwa obeera ogwanidde ekisonyiwo. Teli n'omu agwanidde kusonyiyibwa. Okusonyiyibwa kikolwa kya kwagala n'ekiisa. Okusonyiwa kubeera kusalawo obutaba na busugu eri omuntu omulala newankubadde nga abeera akukoseeza.

Bayibuli etugamba nti ffena twetaaga ekisonyiwo kya Katonda. Ffena twonoonye. Omuburizi 7:20 etugamba nti,' Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona. Buli kikolwa kyona ekibi kitegeeza bujeemu eri Katonda (Omubulizi 51:4) N'olwensonga eyo, twetaaga nnyo okusonyiyibwa kwa Katonda. Ebibi byaffe bwebibeera tebisonyiyiddwa, kiteggeeza nti tujja kumala ebiseera byaffe byona nga tubisasulira. Matayo 25:46; Yokaana 3:36)

Okusonyiyibwa- Nkufuna ntya?

Kyamukisa nti Katonda mwaagazi ate wakiisa- ayagala nnyo okusonyiwa ebibi byaffe! 2 Peteero 3:9 atugamba nti, "Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya" Katonda ayagala nnyo okutusonyiwa, n'olwekyo, yatuwa ekisonyiwo.

Empeera yokka ey'ebibi byaffe kwe kufa. Mukitundu ekisooka eky' Abaruumi 6:23 kigamba nti, "Empeera y'ekibi kwe kuffa….." Okubeera abafu oluberera ge magoba ge twaafuna olw'okwonoona kwaffe. Katonda, mu ntegeka ye eyanamaddala, yafuuka omuntu – Yesu Kristo (Yokaana 1:1-4). Yesu yaffa ku musalaba, naatwaala ekibonerezo ekyaali kitugwaanidde- Kuffa. 2 Bakolinso 5:21 etusomesa nti, "Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye. Yesu yaffa kumusalaaba, naatwala ekibonerezo ekitugwaanila! Okufananako ne Katonda, okufa kwa Yesu kwaweesa ensi yona ekisonyiwo ky'ebibi.. 1 Yokaana 2:2 anyonyola nti, "…………. Yesu yazukira mu bafu, n'alaga okuwangula eri ebibi n'okufa (1 Bakolinso 15:1-28). Mukama agulumizibwe, mu kuffa n'okuzukira kwa Yesu Kristo, ekitundu eky'kubiri eky'Abaruumi 6:23 kituufu, "........ naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe".

Oyagala okusonyiyibwa ebibi byo? Olina ekintu ekikulumiriza ng'owulira tekigenda? Okusonyiybwa ebibi byo weekuli kasita oteeka okukiriza kwo mu Yesu Kristo ng'omulokozi wo. Abaefeso 1:7 egamba, "eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyo noono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli". Yesu yasasula ebbanja lyaffe tusobole okusonyiyibwa. Ky'olina okukola kusaba Katonda kisonyiwo mu linya lya Yesu, ng'okiriza nti Yesu yaffa kulw'ebyonoono byo- era agya kukusonyiwa! Yokaana 3:16-17 alinmu amawulire gano amalungi, "Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda. teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye."

Okusonyiyibwa- Kyangu?

Mazima ddala kyangu! Tosobola kuwangula kusonyiyibwa okuve eri Katonda. Tosobola kusasulira kusonyiyibwa okuva eri Katonda. Oyinza kukufuna bufunyi, nga oyita mu kukiririza, mu kusasiirwa n'ekiisa kya Mukama waffe. Bw'obeera oyagala okukiriza Yesu Kristo ng'omulokozi wo, osobole okusonyiyibwa okuva erI Katonda, esaala gy'oyinza ousaba yiino. Okusaba esaala eno oba esaal endaal ayonna tekigya kukuwa kisonyiwo. "Mukama Katonda, kimanyi nti ndi mwonoonyi gyooli era ngwaniira kibonerezo. Naye Yesu Kristo yatwaala ekibonerezo kyenali ngwaanidde, mukumukiriza, nsaobole okusonyiyibwa. Nteeka obwesiigwa bwange mu gwe olw'okununurwa. Webaale nnyo olw'ekisa kyo ekiingi n'onkunsonyiwa! Amiina!"

Osazewo okukiriza mu Kristo okusinzira kubyosomye wano?



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE