- Praise

kutendereza

Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe. - Nekkemiya 8:10

Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo. - Zabbuli 34:1

Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.- Zabbuli Psalms 50:23

Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Katonda mu watukuvu we: Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge. Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi: Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli.Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere: Mumutendereze n'amadinda n'ennanga.Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina: Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere:Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo: Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono.Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama. - Zabbuli Psalms 150

Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go. - Zabbuli Psalms 89:15

Muleetere Mukama eddoboozi ery'essaayu, mmwe ensi zonna.Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba. - Zabbuli Psalms 100:1, 2

Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo: Zabbuli Psalms 92:1

Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, ggwe nnaayimbiranga okutendereza. - Zabbuli Psalms 101:1

Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi. - Zabbuli Psalms 97:1

Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.- Zabbuli 97:12

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna: - Zabbuli Psalms 103:1, 2

Mumutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu:Batendereze erinnya lye nga bazina: Bayimbe okumutendereza n'ekitaasa n'ennanga.Kubanga Mukama asanyukira abantu be: Aliwonya abawombeefu n'obulokozi.Abatukuvu bajagulize ekitiibwa: Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe. - Zabbuli Psalms 149:1, 3-5

Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda. - Zabbuli Psalms 50:23

Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira; - Ebikolwa Acts 16:25

Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n'ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa. - 2 Ebyomumirembe 20:21,22

mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli. - 1 Abasessaloniika 1 Thessalonians 5:18

Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye. - Abaebbulaniya 13:15

Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde. - Zabbuli Psalms 71:8

Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo. - Zabbuli Psalms 71:14

Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga. - Zabbuli Psalms 113:3

nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe;nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo; - Abaefeeso Ephesians 5:19, 20

N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu. - Okubikkulirwa Revelation 19:5