Prayer
OkusabaMusabe muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo; : - Matayo Matthew 7:7 Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. - Yokaana John 15:7 Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi. - Yeremiya 33:3 Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna. - Yeremiya Jeremiah 29:13 Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. - Isaaya Isaiah65:24 Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe. - Matayo Matthew 18:19, 20 Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye. - 1 Yokaana 1 Yokaana John 5:14, 15 musabenga obutayosa; 1 Thessalonians 5:17 Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire:Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange. Zabbuli 66:18,19 Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano:naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo. - Lukka Luke22:31, 32 Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga. - Abaebbulaniya Hebrews 7:25 Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, aga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. - 1 Timothy 2:8 Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubanga tetutumanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka; naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala. - Abaruumi Romans8:26, 27 Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna. - Makko Mark 11:24 era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. - 1 Yokaana 1John3:22 N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw'oyagala. - Matayo Matthew 26:39 Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera7 Nammwe bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi. - Matayo Matthew 6:6, 7 Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga. - Abaebbulaniya Hebrews 4:16 nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna, - Abaefeeso 6:18 Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi. - Zabbuli Psalms 55:17 Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe.- Zabbuli Psalms 102:17 Mwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. - Zabbuli Psalms 116:1, 2 Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe. Zabbuli Psalms 102:17 Kubanga abantu balituula ku Sayuuni e Yerusaalemi: tolikaaba nate maziga; talirema kukukwatirwa kisa olw'eddoboozi ery'okukaaba kwo; bw'aliwulira alikwanukula: Isaaya 30:19 Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. Isaaya 65:24 Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi. Yeremiya Jeremiah 33:3 Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu baba!abe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe. Matayo Matthew 6:5 Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe. Matayo Matthew 18:18, 19, 20 Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana.Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga. Yokaana John 14:13, 14 Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. Yokaana John 15:7 Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange. Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire. Yokaana John 16:23, 24 Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. Yakobo James 4:8 era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge. 1Yokaana 1John 3:22 Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira:era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye. 1Yokaana 1John 5:14, 15 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa. Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga Matayo Matthew 21:21, 21D, 22 Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna. Makko Mark 11:24 Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aligguiirwawo. Lukka Luke 11:9, 10 naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola. Abaruumi Romans 4:20, 21 Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, Abaefeeso Ephesians 3:20 Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga. Abaebbulaniya Hebrews 4:16 era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. Abaebbulaniya11:6 Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa.Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe Yakobo James 1:6, 7 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi. Zabbuli Psalms 63:1 Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna. Zabbuli Psalms 119:2 Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera Matayo 6:6 Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. Zabbuli Psalms 22:24 Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze! Zabbuli Psalms 50:15 Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: Zabbuli Psalms 62:8 Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe:N'abajjuukirira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi. Zabbuli Psalms 106:44, 45 N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira. Zabbuli Psalms 119:10 Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi: Isaaya Isaiah 55:6 So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe. Isaaya Isaiah 64:7 Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna. Yeremiya Jeremiah 29:13 Golokoka, okaabe ekiro ebisisimuka we bisookera; Fuka omutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama: Yimusa emikono gyo gy'ali olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala buli luguudo we lusibuka. Okukungubaga Lamentations 2:19 Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama. Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu ggulu. Okukungubaga Lamentations 3:40, 41 Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala: Yoweeri Joel 2:12 Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba. Matayo 17:21 |