Omukristayo yani?Dikisonare egamba nti Omukristayo y'omuntu ayatula okukirizza mu Katonda nga Krist oba okusomesa okukwata ku Yesu Kristo. Kuno okunyonyola tekumalayo makulu gali mukigambo "Omukristayo" Baibuli yenyonyola ekigambo kino obulungi. Ekigambo "Omukristayo kikozesebwa emirundi essatu mu Ndagano Empya. (Ebikolwa byabatuume 11:26;26:28; 1 Petero 4:16). Abagoberezi ba Yesu Kristo basoka okuyitibwa Abakristo mu Antioch. (Ebikolwa byabatuume 11:26) olwensonga nti ebikorwa,eneyisa n'enjogera yalinga eya Kristo. Ekigambo Omukristayo kitegezza "Okubeera mu kibina kya Kristo" oba "Omugoberezi wa Kristo." Ekembi kiri nti ekigambo Omukristayo ebiseera ebisinga kikozzessebwa ookutegeza omuntu omunaddini oba omuntu we'mpisa naye nga ayinza okuba omugoberezi wa Kristo oba nga tali. Banji abatali bagoberezi ba kristo balowoza nti bakristo olwensonga nti bagenda mu kanissa. Wabula okugenda mu kanissa oba okuyamba abatesobolla oba okuba omuntu omulungi tekikufula mukristo. Baibuli esomesa nti ebirungi byetukola tebireta Katonda kutukiriza. Tito3:5 AGAMBA NTI Yatulokola lwa kusasira kwe wabula si lwa bilungi byetukola. Yatulokola mu kuzalirwa eera ne mumwoyo. Omukristayo y'omuntu azzaliddwa era ne Kristo.(Yokaana 3:3;Yokaana 3:7; 1 Petero 1:3) era eyesigga Yesu Kristo. Abeefesi 2:8 atugamba nti mukukiriza walokolwa mukwesigga walokolwa kino tekyava joli wabula kirabo kya Katonda. Omukristayo omutuffu yateka okukkirizza kwe mu bikorwa bya Yesu Kristo ne mu Yesu Kristo ne mukuffa kwe nga okusasula kwe bibi byaffe. Omukristayo akiririza mu kuzukira kwa Yesu oluvanyuma lwe nakku essatu. Yokaana 1:12 agamba nti bona abamwaniriza,bona abesigga erinya lye yabawa olukusa okuyitibwa abaana ba Katonda. Ekiragga Omukristayo omutuffu kwe kwagala abantu abalala nokubeera omuwulizze eri ekigambo kya Katonda. (1Yokaana2:4,10).Omukristayo omutuffu mwana wa Katonda ddala,ali mu kikka kya Katonda era awereddwa obulamu obupya mu Yesu Kristo. Osazewo okukiriza mu Kristo okusinzira kubyosomye wano? |